Omuyimbi omuto mu kisaawe ky’okuyimba Irene Kayemba akubye oluyimba oluvumirira obulagajjavu bw’abasajja mu ggwanga lino Uganda.
Oluyimba “MUSAJJA KKI” lwogera ku mbeera abasajja gye basukkiridde okwebalama obuvunaanyizibwa bwaabwe omuli okulabirira abakyala n’abaana.
Ebigambo ebiri mu luyimba, bituukiridde mu kiseera kino nga Paasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries Makerere, Kikoni ali mu mawulire ku nsonga ze n’omukyala Teddy Naluswa Bugingo ku nsonga z’amaka.
Sabiti ewedde Paasita Bugingo yategeeza nti yakulungula emyaka 10 ne mukyala we Teddy nga tewali kwegatta kuba yali yalwala ekikulukuto, ekintu ekyanyiziza ennyo abakyala n’abaami mu ggwanga.
Mu luyimba olwo, Kayemba alangiridde okulwanirira abakyala abatyoboola abasajja n’abaana mu ggwanga.
Omuyimbi Kayemba abadde nnyo mu mawulire ku bigambibwa nti ali mu laavu ne Joel Isabirye eyeegulidde erinnya mu kuganza abakazi ab’enjawulo.