Omuyimbi Rema Namakula naye avuddeyo ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries okutyoboola n’okulengezza ekitiibwa ky’abakyala.

Bino biddiridde Bugingo okusinziira mu kkanisa ye e Makerere ku Lwokusatu n’ajolonga mukazi we Teddy Naluswa Bugingo nti yalwala ekikulukuto. Bugingo yamala emyaka 10 nga buli lunaku agula ppamba kubanga paadi zaali tezikyagasa. “Teddy yeewaana atya bw’agumiikirizza emyaka 29, kyokka nga mu mu myaka egyo tebeegatta mu kaboozi mirundi giwera 100?” bwe yeebuuzizza ng’ali mu kkanisa.

Wabula mukyala wa Eddy Kenzo, Rema agamba nti abakyala betaaga ekitiibwa mu mbeera yonna.

Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face book okugamba nti, “#respectwomen“, era bangi ku bakyala balaze okusiima kwabwe, Rema okuvaayo ku nsonga za bakyala bonna kuba naye kyakulabirako eri abakyala abalala.

Ebigambo bya Rema biraga nti Kenzo alina okwegendereza okuwa abakyala bonna mu ggwanga ekitiibwa kuba mukyala we alina obusungu ku nsonga z’abakyala.