Poliisi y’e Mukono etandiise okunoonya ssentebbe w’ekyalo Busaale mu ggombolola y’e Nakisunga Abdul Lwanga 56 ku misango gy’okusobya ku baana abato, adduse awaka bw’akitegedde nti Poliisi emunoonya.

Kigambibwa Lwanga abadde asobya ku bazzukulu be okumala emyaka esatu (3) okuli Kasifah Jamila Nanyonga 15 asoma P.7 ne Sabibah Asiimwe 13 ng’asoma P.5 ku ssomero lya Seeta- Nazigo RC Primary.

Okusinzira kw’akulira Poliisi y’e Seeta Nazigo, Adiga Hussien ssemaka Lwanga ne mukyala we bonna badduse era tewali gwe baakutte era okunoonya kutandikiddewo mbagirawo.

Ebbaluwa z’eddwaaliro nga zitekeddwako omukono Dr Keneth Kigoonya akulira eddwaaliro lya Kojja Health Center IV Ntenjeru, ziraga nti omwana Nanyonga babadde bamukozesa emyaka egisukka mwe 3 ate Asiimwe omwaka mulamba.

Abaana bombi, basangiddwa mu ddwaaliro erya Gavumenti erya Kojja Health Centre IV  e Ntenjeru nga balumizibwa mu bitundu by’ekyama.

Ssentebe wa LC 111 mu ggombolola y’e Nakisunga Mubarak Ssekikubo agambye nti bakwataganyeeko ne Poliisi okunoonya ssemaka ne mukyala we bakwatibwe baggalirwe mu bwangu ddala.

Lwanga aguddwako omusango gw’okusobya ku baana ku fayiro namba Ref  SD 09/18/07/2019.