Muganzi wa Diamond Platnumz, Tanasha Donna Oketch amaliridde okusindikiriza Zari Hassan okwesonyiwa emmaali ya bba.
Tanasha ali lubuto era kigambibwa essaawa yonna agenda kuzaalira Diamond omwana omulenzi.
Agava mu ggwanga erya Tanzania, Tanasha yagambye mikwano gye nti alina essanyu kuba agenda kuzaalira Diamond omusika.
Ebigambo bye, biraga nti wakati mu laavu ne bba Diamond, omwana we alina okusikira eby’obugagga byonna singa Omukama ajjulula kitaawe.
Mungeri y’emu asindikidde Zari obubaka nti wadde yazaalira Diamond abaana babiri okuli Tiffah ne Nillan Dangote nga kuliko omulenzi, alina okukolerera abaana be kuba ye (Tanasha) yageenda okuzaala omusika.
Mu kiseera kino Zari naye ali mu ssanyu oluvanyuma lw’okufuna omusajja omulala anaagumira ebizibu bye.
Kigambibwa sabiti eno, muganzi wa Zari, King Bae yamunaanise empeta mu nkola ya ‘nkusibidde awo’,