Poliisi y’e Kisoro etandiise okunoonyereza abatemu abasse munnamateeka Isaac Sendegeya abadde akolera mu disitulikiti y’e Kisoro.

Munnamateeka Sendegeya abatemu bamusangirizza ku mulyango gwe nju ye ku kyalo Nturo okumpi n’ekibuga kye Kisoro.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Sendegeya yattiddwa ekkiro ky’olunnaku olwa Ssande ku ssaawa 8 ez’ekiro bwe yabadde ava mu katawuni k’e Kisoro.

Maate agamba nti Poliisi we yatuukidde mu kifo ng’omulambo gwa Sendegeya gugiddwa mu kifo webamuttidde ne guyingizibwa mu nnyumba.

Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera kino tewali muntu yenna akwattiddwa wabula Poliisi etandiise okunoonyereza.

Omubaka wa Pulezidenti mu Disitulikiti y’e Kisoro Peter Mugisha agamba nti ddukaduka ali mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo (DRC) y’emu ku nsonga lwaki ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka byeyongedde mu bitundu bye Kisoro.