Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Flavia Ssenoga asindise mu kkomera e Luzira, abasajja babiri (2) okusibwa emyaka 30 nga basingisiddwa emisango gy’okubba n’okutta omuntu.

Ronald Mutebi ne Geoffrey Lubwama basingisiddwa emisango gy’okubba n’okutta Andrew Gatare myaka 19 munnansi wa Rwanda eyali omuyizi ku Yunivasite y’e Columbia mu ggwanga erya Canada.

Gatare yattibwa ku lusooka omwaka nga 1, January, 2015 ku ssaawa 7:30 ez’ekiro okumpi ne Nile Avenue bwe yali ava ku Serena Hotel mu Kampala okulaba fireworks.

Mutebi ne Lubwama bamutta oluvanyuma ne batwala ebintu bye omwali essimu ekika “Black Berry” ebalirirwamu obukadde obusukka mu kamu kyokka bagitunda emitwalo 10 ne bafunako emitwalo 4 ez’obuliwo.

Omulamuzi bw’abadde awa ensala ye agambye nti Mutebi ne Lubwama okutta Gatare bakikola bakigenderedde era okubasiba emyaka 30 kikoleddwa, okutangira abantu abalala abalina ekigendererwa eky’okubba n’okutta abantu.

Mu kusooka, oludda oluwaabi nga  lukulembeddwamu Florence Akello lusabye omulamuzi, okusiba Mutebi ne munne ebbanga ddene kuba okutta Gatare ku myaka 19 bamufiiriza ebintu bingi n’eggwanga ebyandibadde eby’omugaso.