Ekiyongobero kibutikidde abatuuze ku kyalo Bukalu mu ggombolola y’e Nabuwigulu mu Disitulikiti y’e Kamuli, abatemu batemyetemye ssemaka ne mukyala we ne battibwa.
Ssemaka Ndilugendawa Kisule myaka 66 ne mukyala we Frances Namisini, bebattiddwa ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero era emirambo gyabwe gisangiddwa mu nnyumba mu kitaba ky’omusaayi nga batemeddwa emitwe, obulago n’ebitundu by’ekyama.
Ate muwala waabwe Glory Namugolo yasimatuse okuttibwa kyokka yatemeddwa era awereddwa ekitanda mu ddwaaliro ekkulu e Kamuli ng’ali mu mbeera embi.
Poliisi esobodde okwekebejja ekifo era abatuuze bagiddwako sitetimenti kyokka balabuddwa obutamala gasasaanya mawulire.
Kigambibwa obutakaanya ku ttaka y’emu ku nsonga lwaki ssemaka ne mukyala we battiddwa.
Julius Katoobe amyuka ssentebe w’ekyalo agambye nti yewunyiza nnyo engeri abatuuze be gye battiddwamu era asabye Poliisi okunoonyereza abatemu abakikoze.
Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North, Michael Kasadha asabye abatuuze bonna abalina amawulire ku ttemu erikoleddwa, okuyamba ku Poliisi, basobole okukwata abatemu.
Emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro e Kamuli okwekebejjebwa ate abatuuze basabye Poliisi okwongera amaanyi mu byokwerinda.