Minisita w’ebyensimbi mu ggwanga erya Kenya akwattiddwa ku misango gy’okwenyigira mu kulya enguzi.
Minisita Henry Rotich akwattiddwa ku biragiro bya Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP) ku bigambibwa nti alina Kampuni okuva mu ggwanga erya Itary eya CMC de Ravenna gye yawa ssente okuzimba ddaamu bbiri (2) mu ngeri etamanyiddwa.
Kontulakiti eyaweebwa Kampuni yali ya bukadde bwa ddoola 405.
Wabula Minisita Rotich omwezi ogwokusatu, yegaana emisango gyonna egy’okwenyigira mu kulya enguzi.
Ssaabawaabi wa Gavumenti Noordin Haji agamba nti alina n’okunoonyereza ku ssente obukadde bwa ddoola 170 ezeeyongeramu mu kiseera ky’okuwa Kampuni Kontulakiti.
Mungeri y’emu alagidde n’okukwata abantu 20 aboogerwako nti benyigira mu kuwa Kontulakiti eyo omuli n’abakulu aba kampuni eya CMC de Ravenna.