Mu kiseera kino omuyimbi Winnie Nwagi ali mu kwewozaako ku by’okusasaanya obuseegu mu bayizi ba St. Mary’s College Kisubi (SMACK) ku kabaga kaabwe akaabadde ku ssomero sabiti ewedde.

Nwagi y’omu ku bayimbi abayitiddwa okukyamula abayizi kyokka amazina ge n’ennyambala mu baana byatabudde abazadde eb’enjawulo.

Okusinzira ku bifaananyi, Nwagi obwedda azina n’abaana amazina ag’engeri omuli ne ‘sikwizi’, okuwa omukolo gwabwe ekitiibwa.

Nwagi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okwetonda okunamira abayizi era agambye nti, olw’okwagala okusanyusa abawagizi be olumu ayita we yandikomye era y’embeera eyabadde ku ‘SMACK’.

Wabula abamu ku bantu ku mukutu ogwa Face Book bagamba nti wadde Nwagi yakoze nsobi okunambira abayizi n’okuzina sikwizi n’abayizi, abakulu b’esomero bebalina omusango kuba balemeddwa okumulambika obulungi Nwagi ku nnyambala eri abayizi baabwe.

Mungeri y’emu bagamba nti okukiriza Nwagi okulinya ku siteegi mu ngeri gye yabadde ayambaddemu, kabonero akalaga nti babadde bamativu ne nnyambala ye era talina musango gwonna.

Ebifaananyi bya Bukedde