Ekiyongobero kibutikidde abatuuze ku kyalo Kikuba St. Kaggwa mu ggombolola y’e Bushenyi era disitulikiti y’e Bushenyi owa bodaboda eyabula akawungeezi k’olunnaku olwokubiri, bw’azuuliddwa nga yattibwa.
Felix Bakyenga abadde avugira ku siteegi ya Ruharo ku kyalo kye kimu, era yapangisibwa abasajja akawungeezi k’olunnaku olwokubiri okubatwala mu kifo ekitamanyiddwa.
Omulambo gwe, gusangiddwa mu ffaamu y’omugenzi Colonel Jet Tumwebaze ku kyalo afunjo cell mu ggombolola y’e Bubaale mu disitulikiti y’e Mbarara.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi, Samson Kasasira omulambo gwa Bakyenga gusangiddwa nga gutandiise okuvunda era kiteeberezebwa nti abamutta baamutuga butuzi.
Mungeri y’emu pikipiki ye namba UEW 507T bajaj boxer nga yabadde myufu yabiddwa era Poliisi etandiise okunoonyereza.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbarara okwekebejjebwa nga Poliisi bw’enoonya abatemu.