Kyaddaki omukyala Zari Hassan amaliridde okutwala mu kkooti eyali bba omuyimbi Diamond Platnumz ku nsonga z’abaana baabwe.
Zari ali mu Uganda mu kiseera kino kuba yayitiddwa okuba omu ku balamuzi mu mpaka za nnalulungi wa Uganda (Miss Uganda) ezikomekerezebwa olunnaku olwaleero ku Lwokutaano ku Sheraton Hotel mu Kampala.
Ate ne Diamond naye ali mu Uganda kuba ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero abadde alina ekivvulu ku comedy Store ku UMA Showgrounds Lugogo.

Wabula Zari bw’abadde awayamu n’omusasi waffe mu Kampala agambye nti Diamond asukkiridde okulagajjalira abaana era essaawa yonna ayinza okumutwala mu kkooti.
Zari yazaalira Diamond abaana babiri okuli Lattifa ne Prince Nillan kyokka agamba nti kitaabwe alemeddwa okubalabirira.