Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Yasin Nyanzi alangiridde nga 8, August, 2019 okuwa ensala ye kukusaba okwakoleddwa Godfrey Wamala amanyikiddwa nga ‘Troy’ okweyimirirwa.

Troy agambibwa okutta Moses Ssekibogo eyali amanyikiddwa nga Mowzey Radio bwe baafuna obutakanya mu baala ya De- Bar e Ntebe ku ntandikwa y’omwaka 2018 era yafa nga 1, February, 2018.

Troy yasaba okweyimirirwa omulundi ogwasooka mu maaso g’omulamuzi Jane Frances Abodo wabula n’akugoba kuba yalemwa okuwa omulamuzi ensonga ye ggumba lwaki ayagala okuva e Luzira.

Yazeemu okusaba omulundi ogw’okubiri era yategeezezza omulamuzi Nyanzi nti, mwetegefu okukomawo ku kkooti buli lw’anaba yeetaagibwa era talina ngeri yonna gy’agenda kutaataganya bajulizi n’abajulizi kubanga okunoonyereza kwaggwa.