Kkooti enkulu e Masaka esindise mu kkomera omusajja myaka 35 okusibwa emyaka 33 lwa kutta kitaawe.
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Winfred Nabisinde agambye nti afunye obujjulizi bwonna obulaga nti Godfrey Ssenyange yatuga kitaawe Joseph Mwai naamutta olw’obutakaanya ku ttaka.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Nkasa lugamba nti Ssenyange yatta kitaawe nga 2, November, 2017 kuba yali agaanye okumuwa ekitundu ku ttaka okutunda.
Mu kiseera ekyo, Ssenyange yali abeera mu maka ga kitaawe ku kyalo Nkoni mu disitulikiti y’e Lwengo.
Mu kkooti, Ssenyange yakirizza omusango kyokka naasaba omulamuzi Nabisinde ekibonerezo ekisamusaamu kuba alina obuvunaanyizibwa okulabirira famire ye.
Omulamuzi Nabisinde bw’abadde awa ensala ye agambye nti kyewuunyisa omwana okutta kitaawe era abantu nga Ssenyange balina okubaggya mu bantu. Mu ngeri y’emu agambye nti amusibye emyaka 33 okutangira abantu abalina ekigendererwa eky’okutta abantu abalala.