Omusirikale mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi asindikiddwa mu kkomera emyaka 34 lwa kutta muganzi we era asingisiddwa gwa butemu mu kkooti enkulu e Masaka.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Nkwasibwe, nga 1, ogwomunaana, 2018, Omukuumi Anywa Quinto okuva mu kitongole ekya Tigger Security Group Limited, yakuba muganzi we Dina Apoloti amasasi agamuttirawo ku kyalo Kizungu, mu ggombolola y’e Katwe-Butego era omulambo gw’omuwala, gwasangibwa mu kitaba kya musaayi.
Ku lunnaku lwe lumu yabba essimu ya mulamu we Jenifer Amonding ku mudumu gw’emmundu.
Mu kkooti, omukuumi Quinto akirizza omusango, kwekutegeeza nti yatta muganzi we kuba yali afunye omusajja omulala ate eyali mukama we era yakikola olw’obusungu ssaako n’ebuba.
Omulamuzi Nabisinde bw’abadde awa ensala ye agambye nti omukuumi Quinto yakola nsobi okutta muganzi we ate nga baali bayawukana dda.
Mungeri y’emu agambye nti amusibye emyaka 34 okutangira abalala abalina entekateeka z’okutta baganzi baabwe.