Bya Nalule Aminah

Kyaddaki Poliisi efundikidde okunoonyereza ku Bosco Mugisha ne munne Aloysius Tamale eyakazibwako Young Mulo abakwatibwa ku by’okubba pikipiki n’okutta bannanyinizo.

Mugisha eyakazibwako erya Mukiga ye yatemula Derrick Mulindwa ng’ali ne Young Mulo.

Baamutta mu kiro kya June 30, e Kakeeka-Mengo. Mulo alabika mu katambi ng’anyoola Mulindwa ensingo olwo Mugisha n’alyoka aleeta ennyondo n’agikubisa Mulindwa okutuusa lwe yafa.

Akatambi akaakwatibwa kkamera z’essomero e Kakeeka mu Lubaga.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Young Mulo ne munne baguddwako emisango munaana (8) egy’obubbi n’obutemu.

Enanga agamba nti Fayiro yaabwe essaawa yonna bagitwala eri Ssaabawaabi wa Gavumenti.