Kyaddaki omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Yasin Nyanzi ayimbudde Patrick Kasaija amanyikiddwa nga Agaba Pato kakalu ka kkooti, akawungeezi ka leero.

Omulamuzi agamba nti Pato abantu baleese okumweyimirira, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joanita Tumwikirize lubakkiriza.

Mu kkooti, Pato aleese abantu 4 okubadde kitaawe Christopher Kasaija, kojja we Richard Kagoro nga bonna batuuze mu Disitulikiti y’e Hoima.

Abalala kubaddeko mukwano gwe Ambrose Byona nga mutuuze we Kyengera mu Disitulikiti y’e Wakiso ne Arnold Ananura ssenkulu w’ekitongole ky’obwananyini ekikuumi ekya Baka Security Firm.

Kitaawe Kasaija ne Kagoro basabiddwa obukadde 20 ezitali za buliwo ate mukwano gwe Ambrose Byona ne Ananura obukadde 25 nga nazo si za buliwo.

Omulamuzi Nyanzi alagidde Pato okuwaayo “photocopy” y’ettaka okutudde amakaage ku kyalo Muwanga Zone mu Divizoni y’e Makindye.

Ate singa oludda oluwaabi lukomekkerezza okunoonyereza, “passport” ya Pato balina okugikwasa omuwandiisi wa kkooti enkulu.

Mungeri y’emu alagiddwa okweyanjula mw’offisi y’omusirikale akola ogw’okunoonyereza ku Poliisi y’e Kabalagala omulundi gumu buli mwezi ne mw’offisi y’omuwandiisi wa kkooti enkulu n’okutandiika omwezi ogujja ogwomunaana.

Pato ali ku misango gy’okuwaamba n’okutta Suzan Magara n’ekigendererwa eky’okusaba abazadde be ensimbi.

Suzan Magara yawambibwa nga 7, Ogwokubiri, 2018, omulambo gwe ne guzuulibwa nga wayise ennaku 21 e Kigo.

Pato yakwatibwa mu gwokusatu gwa 2018 mu ggwanga erya South Africa amangu ddala nga Magara attiddwa okutuusa lwe baamuzza mu Uganda nga 15, ogwokutaano, 2019.

Pato wadde ali ku misango gy’okuwaamba n’okutta Magara, okweyimirira kwe kubadde ku musango ku gy’okuwaamba Joan Alupo Cora nga 1, ogwokutaano, 2013 ku kyalo Muyenga A ku luguudo lwa Kironde n’ekigendererwa eky’okusaba abazadde ensimbi ssente.