Ssemaka Amos Thembo Nyaminji myaka 34 nga mutuuze ku kyalo Kasenyi mu ggombolola y’e Buhuhira mu disitulikiti y’e Kasese asindikiddwa mu kkomera okusibwa emyaka 32 lwa kutta munnamaggye wa Uganda People Defense Forces-UPDF Yosiah Kananire eyali akolera ku kitebe ky’amaggye e Mbuya.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Filbert Murungi nga 24, May, 2017, Nyaminji yalumba Kananire ku kyalo Butohyo ng’akutte ejjambiya namusala obulago, okumutemako emikono, era omulambo gwe gwasangibwa mu kitaba kya musaayi.
Omulamuzi Wilson Masalu Musene amusingisiza omusango gw’obutemu era agambye nti abantu balina okukomya okutwalira amateeka mu ngalo nga y’emu ku nsonga lwaki Nyaminji asibiddwa emyaka 32 kuba kkooti efunye obujjulizi bwonna obulaga nti yatta Kananire.