Omuyimbi Dr Jose Chameleone wadde 2021 yegwanyiza obwa Loodi Meeya bwa Kampala, mu kiseera kino tali mu ggwanga, ali kulya bulamu mu nsi z’ebweru.
Omukyala Sheila Nadesh amanyikiddwa nga Nalongo Don Zella asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi nti ye ne Chameleone balina bingi nnyo ebibagatta nga bannayuganda.

Don Zella agamba nti balina okweyambisa obuyinza bwabwe okufuna obukulembeze obulungi mu ggwanga Uganda kyokka byonna obwedda abyogera nga Chameleone amaaso gali ku bithambi bye kuba abadde ayambadde nkunamyo.
Mungeri y’emu ennyambala ya Don Zella yeerabiza Chameleone okudda mu Uganda okwetegekera okuvuganya kwa Loodi Meeya kuba ekyana kimusabulidde akagoye okumwerabiza ebirala byonna.