Ssemaka asindikiddwa mu kkomera okusibwa emyaka 20 lwa kusobya ku mwana wa mukyala we, gwe yajja naye mu bufumbo.

Moses Byaruhanga, myaka 32 nga mutuuze mu disitulikiti y’e Rakai yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Winfred Nabisinde lwa kusobya ku mwana myaka 8.

Mu kkooti, Byaruhanga akirizza omusango era munnamateeka we Andrew Tusingwire asabye omulamuzi omuntu we okumuwa  ekibonerezo ekisamusamu kuba akiriza mangu omusango.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa, lugamba nti Byaruhanga okusobya ku mwana, mukyala we yali atambuddemu ate mu kiseera ekyo, yalina akawuka akaleeta mukenenya.

Akasa agamba nti Byaruhanga nga talimu nsonyi, yakozesa omwana era Omutonzi yasobola okuyamba obutamusiiga bulwadde.

Omulamuzi mu kuwa ensala ye, agambye nti Byaruhanga abadde alina okusibwa emyaka 25, wabula amusaliddeko omwaka gumu (1) kuba akirizza mangu omusango n’emyaka 4 gyakulungudde ku limanda, kwekumusiba emyaka 20.