Omulamuzi Gladys Kamasanyu owa kkooti ku luguudo Buganda olunnaku olwaleero lw’asuubirwa okuwa ensala ye ku misango egivunaanibwa yaliko omusomesa ku yunivasite y’e Makerere Dr Stella Nyanzi.
Emisango egimuvunaanibwa Dr Nyanzi mulimu okukozesa obubi kompyuta bwe yeeyambisa omukutu gwa ‘Facebook’ n’aweereza Pulezidenti Museveni obubaka obumuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa ge kyokka n’atakoma okwo n’awemuliramu maama wa Museveni, omugenzi Esiteri Kokundeka.
Oludda oluwaabi lugamba nti ebigambo bino tebyakoma ku kuvvoola Museveni wabula byamumalako emirembe era mu kkooti baleese abajjulizi basatu (3).
Nyanzi yawa kkooti olukalala lw’abantu 20 abagenda okumuwolereza omuli Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni n’asaba kkooti ebawe ebiwandiiko ebibayita mu budde kubanga abasinga bakozi ba Gavumenti kyokka bonna bagaanye okuggya mu kkooti.
Nyanzi yawaayo pulezidenti Museveni ng’omujulizi asooka, n’agattako bapolofeesa b’e Makerere ne bannaddiini ku misango gy’okuvuma Pulezidenti Museveni kyokka kkooti Pulezidenti ne muggyaako kuba mu mateeka talina kuggya mu kkooti ng’akyali mu ofiisi eyo olwo ne basigala abajulizi 19.
Nyanzi mu kkomera e Luzira abaddeyo okuva nga October 2018, yagaana okumweyimirira yadde kkooti yali emuwadde omukisa gw’okusaba bamukkirize aleete abagenda okumweyimirira.
Omulamuzi Kamasanyu yategeeza nti Dr Stella Nyanzi ne munnamateeka we Isaac Ssemakadde balemeddwa okuleeta abajjulizi mu kkooti okwewozaako, kwe kulangirira olunnaku olwaleero, nga 1, August, 2019 okuwa ensala ye.