Omulamuzi wa kkooti enkulu e Fort Portal Wilson Masalu Musene agobye emisango 14 nga kivudde ku ludda oluwaabi okulemwa okufuna obujjulizi ku bantu abakwatibwa mu bitundu bye Kasese.

Emisango egigobeddwa kuliko 10 gya kusobya ku baana abato, 2 kukwata bakyala n’emisango 2 gya bubbi.

Okusinzira ku muwaabi wa Gavumenti mu bitundu bye Kasese, Filbert Murungi, ku misango egyo abavunaanibwa bawa ssente avunaana okusobola okulemesa oludda oluwaabi okufuna obujjulizi obuneyambisibwa mu kkooti.

Abavunaanibwa baali bakwatibwa wakati wa 2016 – 2017 era omulamuzi Musene agamba nti kimenya amateeka abantu okubakumira mu kkomera nga tewali bujjulizi kuba kityoboola eddembe lyabwe.

Ensalawo y’omulamuzi ewadde famire z’abantu ababadde mu kkomera essanyu era bagambye nti abantu baabwe okuyimbulwa, kabonero akalaga nti kkooti mu Uganda zitambulira ku mazina na bwenkanya.