Sheilah Gashumba agamba nti mu Kampala, muganzi we Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan ye musajja asinga okusasaanya ssente mu kulya obulamu mu Kampala.
Sheilah agamba nti ye ne God’s Plan batambula mu bbaala ez’enjawulo okulya obulamu Mmande ku Mmande kuba omusajja alina ssente.
Mungeri y’emu yewunyisizza abantu bw’ategezezza nti God’s Plan akulungudde ebbanga mu ggwanga erya Bungereza mu kibuga London era ategeera ennyo kye bayita okulya obulamu kuba mu Kampala, ye musajja agula omwenge gwe bbeeyi gwokka.
Sheilah era agamba nti God’s Plan asukkulumye nnyo ku mugenzi Ivan Ssemwanga mu kusasaanya ssente mu Kampala ate ye musajja ateraga.