Poliisi ekutte omukyala ku by’okutta bba, ekkiro ekyakeseza olunnaku olw’eggulo.
Ssemaka Bamanyisa Adonia myaka 77 abadde omutuuze ku kyalo Bwambala mu ggombolola y’e Bwambala mu Disitulikiti y’e Rukungiri yakumiddwako omuliro omukyala we Keloy Bamanyisa myaka 65.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate Ssemaka Bamanyisa yafunye obutakaanya ne mukyala we ku ssaawa nga 5 ez’ekiro era wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, batandiise okulwanagana nga beekuba ebintu by’omu nju omuli esowaani, amasepeki ssaako n’obutebe.
Maate agamba nti Ssemaka Bamanyisa olw’okuwa mukyala we ekitiibwa, yamuviiridde kwe kuddukira mu kisenge kya bazzukkulu.
Omukyala yakutte ekipapula, nakiteekako omuliro, nakisuula mu kisenga omwabadde ssemaka, ekyembi kyagudde ku jjenereta omwabadde amafuta era omuliro gwatandikiddewo okwokya ekisenge kyonna ssaako n’ekitanda.
Poliisi egamba nti abatuuze webatuukidde okuzikiza omuliro nga ssemaka yafudde dda ate ng’omukyala asobeddwa eka ne mu kibira ate yabadde atamidde.
Omukyala akwattiddwa ate omulambo gwatwaliddwa ku ddwaaliro ekkulu e Mbarara okwekebejjebwa nga Poliisi bwenoonyereza ekyavuddeko okulwanagana okutuusa omukyala okutta bba.