Omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyikiddwa nga Bajjo akwattiddwa poliisi nga yakatuuka ku kisaawe kya Mutesa II e Wankulukuku.
Bajjo ne munne Abby Musinguzi amanyikiddwa nga Abtex babadde balina ekivvulu ku kisaawe e Wankulukuku, “Ekyepukulu” kyokka Poliisi yakiyimiriza ku ssaawa envanyuma.
Poliisi egamba nti mu kiseera kino terina bukuumi bumala okukuuma abantu bonna mu kivvulu ekyo wadde mu kusooka baali bakkiriziddwa.
Enkya ya leero, Bajjo abadde yakatuuka ku kisaawe, nakwatibwa okutangira embeera okusajjuka wadde tetunamanya kifo mwatwaliddwa.
Abategesi okuli bajjo eyaakava mu kkomera ennaku ezo olw’okulebula n’okunyiiza pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abadde ategese e Wankulukuku n’ekigendererwa kyokusonda ssente okuyamba abasibe abazze bakwatibwa.
