Kyaddaki mukyala wa Diamond Platnumz, Tanasha Donna alangiridde nti essaawa yonna aleeta omwana ku nsi.
Tanasha ali lubuto lwa Platnumz okuva ku ntandikwa y’omwaka gunno ogwa 2019 era wakati mu ssanyu, omukyala n’omwami Platnumz balindiridde mwana.

Mu mbeera eyo, Tanasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era agambye nti abuzaayo omwezi gumu, okuzaala omwana omulenzi, “1 more month my son. Can’t wait to meet you“.
Wakati mu ssanyu, ne bba Platnumz asobodde okweyambisa omukutu gwe gumu ogwa Instagram okutegeeza nti naye ali mu mbeera y’emu alindiridde okwaniriza omwana waabwe,”Nah! i can’t wait…”.
https://www.instagram.com/p/B0qwBjQA-fw/