Omuyimbi Lydia Jazmine abikudde ekyama nti Kamulali mungi mu bintu bye era eyinza okuba emu ku nsonga lwaki mu kiseera kino talina musajja.
Jazmine y’omu ku bawala abato abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba era asobodde okweyambisa talenti ye, okuba eky’okulabirako eri abawala abalala.

Ku myaka 28, bamwogeddeko nti abaddeko mu laavu n’abasajja ab’enjawulo omuli n’omuyimbi Eddy Kenzo wadde tewali bukakafu bwonna.
Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okugamba nti, “Kamulali Mungi #EbintuByange” era abamu ku bagoberezi be batandikiddewo okugamba nti y’emu ku nsonga lwaki talina musajja kuba ebintu bye mulimu kamulali.
https://www.instagram.com/p/B0tRge9n6qN/