Omuyimbi Leila Kayondo agamba nti mu bulamu bwe tayinza kwerabira omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga.

Leila agamba nti SK Mbuga musajja alina omutima omulungi alina omukwano era akoze nnyo mu kutumbula talenti ye ey’okuyimba.

Agamba nti, SK Mbuga mukwano gwe nnyo era yasobola okumuyamba ku ssente okufuna ennyimba, okuzikwata mu situdiyo ne vidiyo.

Leila Kayondo agamba nti naye alumwa okuba nti mu kiseera kino mukwano gwe SK Mbuga ali mu kkomera ebweru w’eggwanga ku misango gy’okufera abazungu ssente kuba singa ali mu Uganda, singa ebintu byanjawulo nnyo.

SK Mbuga ne Leila
SK Mbuga ne Leila

Leila Kayondo alina ennyimba ez’enjawulo omuli Musaayi, Pay My Money, Tompona n’endala era kigambibwa yali wamaanyi nnyo mu kiseera ng’ali mu laavu mbu ne SK Mbuga.

Bukya Mbuga afuna omukyala Angella Vivienne Chebet mu butongole, enkolagana wakati we ne Leila Kayondo yakendera.

Kigambibwa Mbuga yali awa Leila ssente okufuna eby’okwambala, eby’okulya n’okumugulira emmotoka ez’ebbeeyi kyokka byonna byaggwawo dda.