Ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango kitandiise okunoonyereza okufa kw’omuyimbi Michael Kalinda amanyikiddwa nga Ziggy Wyne afudde ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero ku Mmande.
Ziggy Wyne afiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma lw’okukubwa abantu abatamanyiddwa.
Okusinzira ku famire y’omugenzi, Ziggy Wyne yawambibwa okuva mu makaage e Gganda, Nansana sabiti ebiri ezakayita.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti Ziggy Wyne yazuuliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago sabiti ewedde ku Lwokutaano nga bamusokoddemu eriiso erimu, bamutemyeko engalo bbiri ate nga yenna yakubiddwa bubi nnyo.
Enanga agamba nti bafunye amawulire nti Ziggy Wyne ng’awambiddwa, aba famire bafuna okutisibwatiisibwa abantu ab’enjawulo obutagezaako wadde kutegeeza Poliisi kuba singa bakikola, omuntu waabwe yali wakuttibwa.
Mungeri y’emu agambye nti Poliisi y’e Kawempe eguddewo fayiro oluvanyuma lwa Ziggy Wyne okufa, okunoonyereza abakulemberamu okuwamba, okutulugunya n’okumutwala mu ddwaaliro bakwatibwe baggalirwe.
Enanga era agamba nti balina okunoonyereza ensonga lwaki Ziggy Wyne yawambibwa.