Poliisi y’e Kyotera ekutte omusirikale ku by’ okubbibwako emmundu.

Willy Kasujja yakwattiddwa, omusirikale ku Poliisi y’e Kasasa mu Disitulikiti y’e Kyotera.

Kigambibwa Kasujja yabadde agenze ku dduuka okubaako ebintu by’agula, yagenze okudda nga ennyumba ye emenyeddwa era batutte ebintu eby’enjawulo omuli n’emmundu ekika kya “Sub Machine” n’amasasi 29 olunnaku olw’eggulo ekkiro.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bendobendo ly’e Masaka Paul Kangave, omusirikale Kasujja akwattiddwa ayambeko Poliisi mu kunoonyereza.

Kangave asabye abatuuze okusigala nga bakakamu ddala kuba emmundu eyabiddwa, balina okuginoonya.

Ate Andrew Katumba omu ku batuuze mu tawuni y’e Kyotera agambye nti okubba emmundu, kiyinza okuvaako abazigu b’emmundu okweyongera mu kitundu kyabwe.