Omuyimbi Sheebah Kalungi ayingidde mu matwale g’Omutanzaniya Diamond Platnumz okukola kolabo ne mutabani we Rajab Abdul Kahali amanyikiddwa nga Harmonize.

Harmonize ali mu kibiina kya “WCB Wasafi Record” ekikulemberwa Platnumz era amanyikiddwa mu East Africa olw’ennyimba omuli Kwangwaru, Kainama, Niteke, Never Give UP n’endala.

Mu mbeera eyo, Sheebah asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulangirira mu ssanyu nti essaawa yonna agenda kufulumya kolabo ne Harmonize.

Sheebah ne Harmonize okukwatagana, amawulire malungi mu kulakulanya ekisaawe ky’okuyimba mu East Africa.