Omuyimbi omugundivu mu ggwanga erya Nigeria Augustine Kelechi amanyikiddwa nga Tekno, myaka 26 akwattiddwa mu kibuga Lagos lwa kusasaanya busengu ng’ali n’abawala babiri (2) bambadde obugoye obumpi ddala kumpi nga bali bukunya.
Tekno abadde mu mmotoka ng’endabirwamu zitangaala bulungi nnyo era wakati mu mugoteko gw’ebiduuka, abawala nga bazina balabiddwa bannansi, abasobodde okutemya ku Poliisi.
Bannansi bagamba nti Tekno abadde anyumirwa amazina g’abawala era abadde abakuba ssente mu ngeri y’okubafuuwa.
Okusinzira ku Poliisi mu kibuga Lagos, Tekno akwattiddwa n’abawala babiri (2) era okunoonyereza kutandiise.
Wabula manegimenti ya Tekno egamba nti babadde bava kukwata vidiyo ng’emmotoka ezimu zifudde kwekusalawo abawala babiri (2) okulinya emmotoka ya Tekno wabula tewali ntekateeka yonna yakusasanya busegu.
Mu Africa Tekno abadde nnyo mu mawulire olw’okufulumira mu vidiyo ya Beyonce mu alubamu empya gye yakafulumya.