Bya Nalule Aminah

Poliisi esaanyizzaawo Kilo z’Ebiragalala 105 ezizze zikwatibwa okuva ku bantu ab’enjawulo n’okusingira ddala ku kisaawe Entebbe.

Okusinzira kw’akulira bambega mu kitongole ekya Poliisi Grace Akullo, ebyokeddwa byakwatibwa wakati wa April ne July era bibalibwamu biriyoni za ssente 4.

Abakwate kuliko bannayuganda 4, munnansi wa Tanzania 1, Burundi 1, Mali 1, Rwanda 1, China 2 n’abalala.

Okwokya ebiragalala, omukolo gwabadde ku kitebe kya Poliisi e Nambya nga gwakulembeddwamu omumyuka wa Ssaabaduumizi wa Poliisi, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, eyagambye nti ebiragalalagala bino byabulabe nnyo eri ababyettanira.

Maj. Gen. Sabiiti agamba nti okunywa ebiragalalagala kiviriddeko ebikolobero mu nsi okweyongera omuli okusobya ku baana, okukwata abakyala, okubba, abamu okutabuka emitwe n’okufuna endwadde endala.

Sabiiti asabye bannayuganda okuyambako Poliisi okulwanyisa ebiragalalagala kuba byabulabe nnyo ku bulamu bw’abantu.