Kkooti enkulu e Masaka esindise mu kkomera omukuumi okusibwa emyaka 20 lwa kusobya ku mwana myaka 15.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa nga 1, September, 2018, omukuumi Jorum Tumwekwase yali ku ssomero lya bakiggala erya Masaka School of the Deaf, yasitula omuwala myaka 15 namutwala mu kazigo ke, namusobyako.

Tumwekwase mu kiseera ekyo, yali mukuumi ku ssomero era oludda oluwaabi lutegezeza omulamuzi Dr. Winfred Nabisinde nti Tumwekwase yemenya obwesigwa obwamuteekebwamu essomero okukuuma abaana baabwe.

Akasa asabye omulamuzi Nabisinde okuwa Tumwekwase ekibonerezo ekyamaanyi okusobola okuba eky’okulabirako ku basajja abegumbulidde okukabasanya abaana abaliko obulemu.

Mu kkooti, Tumwekwase akirizza omusango era munnamateeka we Alexender Lule asabye omulamuzi omuntu we okumuwa ekibonerezo ekisamusaamu kuba tamalidde kkooti biseera.

Omulamuzi Nabisinde bw’abadde awa ensala ye agambye nti ebikolwa eby’okabasanya abaana abawala byeyongedde mu bendobendo ly’e Masaka ate buvunanyizibwa bwa kkooti okukuuma abaana abato mu ggwanga.

Omulamuzi era avumiridde eky’okusobya ku baana abaliko obulemu, kwekusiba Tumwekwase emyaka 20 okusobola okutangira abasajja abalina ekirowoozo ky’okabasanya ku baana abato.

Tumwekwase bamusaliddeko omwaka gumu (1) olw’okukirizza omusango n’omwaka gumu (1) gw’amaze ku limanda.