Eyali omukulembeze w’eggwanga erya America Barrack Obama essaawa yonna agenda kujja mu Uganda.
Okusinzira ku lukiiko olutekateeka okujjukira nga bwegiweze emyaka 400 bukya obuddu butandika mu Africa, Obama ayitiddwa ng’omugenyi omukulu mu Desemba wa 2019 sabiti esooka.
Mu nsi yonna, Obama ye mukulembeze akyasiinze okuwangula obukulembeze obwamaanyi nga muddugavu.
Dr Maxine Ankrah omu ku bakulembeddemu entekateeka, ku mulundi gunno balina okutambulira ku mulamwa, “okulongoosa ekifaananyi kya bannansi bonna mu Africa”.
Mungeri y’emu agambye nti Obama okuggya mu Uganda kigenda kuweesa omukolo ekitiibwa ate y’omu ku bakulembeze abagenda okwogera.