ENTIISA ebuutikidde abatuuze mu ggombolola y’e Kiambu, omukyala myaka 29 bw’asse muganzi we.
Omulambo gwa Joseph Mwangi abadde omutuuze ku kyalo Gikuni mu Konsituwense Kabete gusangiddwa abatuuze mu kitaba kya musaayi.
Okusinzira ku baneyiba, Mwangi ne muganzi we baludde nga balina obutakaanya era kigambibwa ekkiro ku Lwokutaano nga 16, August, 2019, omukyala yakwata ekiso nafumita Mwangi ku bulago, mugongo n’omutwe.
David Gacuruba omu ku bakulembeze b’omu kitundu aba Nyumba Kumi, agambye nti omukyala abadde alina omusajja omulala avuga bodaboda era kiteberezebwa nti omukyala yekobaanye n’omuvuzi wa bodaboda okusobola okutta Mwangi.
Adduumira Poliisi mu bitundu bye Kabete, Antony Maina agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza okusobola okukwata omukyala avunaanibwe.
Mungeri y’emu asabye abatuuze okukolagana ne Poliisi okusobola okukwata omukyala.