Poliisi y’e Kiryandongo ekutte abantu basatu (3) ku by’okusangibwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka.

Abakwate kuliko Vicent Omoroch, Pithuwa Richard ne Stephen Kasamba nga bonna batuuze ku kyalo Theyagu mu ggombolola y’e Mutunda mu disitulikiti y’e Kiryandongo.

Abasatu bakwattiddwa mu kikwekweeto kya Poliisi n’ekikuuma ebisolo by’omu nsiko (Uganda Wild Life Authority nga 17, August, 2019 era babadde balina emmundu ekika kya Sub machine gun -SMG namba 9388 n’amasasi 9.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, Julius Hakiza agambye nti abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Kiryandongo era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti.