Wuuno omusajja alaze kye bayita ssente, bw’awadde omuyimbi Spice Daina obukadde obusukka 20 ku siteegi.
Spice yabadde mu kivvulu ekimu era omusajja yalinye ku siteegi n’ensawo ya ssente okulaga omukwano gwe eri omuyimbi we.
Bwe yabadde ayogera, yagambye nti mu Uganda, Spice Daina y’omu ku bayimbi abakyala abasiinga okuyimba.
Mungeri y’emu yagambye nti emu ku nsonga lwaki Spice Daina amuwadde ssente, asinga abawala bangi nnyo abasabiriza n’abbo abagala okwebaka obwebasi.
Spice Daina mu ngeri y’okusiima, yawadde omusajja omukisa okukwata ku mutima gwe kyokka bambi yatidde.