Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja abadde anoonyezebwa ku by’okutigomya abatuuze mu Monisipaali y’e Njeru.
Akwattiddwa yeyita Kapul nga yakulembera akabinja k’ababbi aka Boys Boys era abadde aliira ku nsiko okumala emyezi egiwera.
Mu kikwekweeto ekyakulembeddwamu Poliisi n’amaggye, Kapul yakwattiddwa era okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto, yasangiddwa n’ebintu eby’enjawulo omuli ebisi n’ekyambalo ky’amaggye.
Butoto agamba nti mu kiseera kino Kapul ali ku kitebe kya Poliisi e Njeru ku misango gy’okubba era essaawa yonna wakutwalibwa mu kkooti y’amaggye, kuba yasaangiddwa n’ebintu by’amaggye.
Kapul, baamukwattidde ku kyalo Kyabagu mu ggombolola y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe, gy’abadde yapangisa ennyumba nga yekwese.