Abatuuze ku mwalo gw’e Busagazi mu ggombolola y’e Najja mu disitulikiti y’e Buikwe basabye ab’ekitongole ky’ebisolo by’omu nsiko mu ggwanga aba Uganda Wildlife Authority,(UWA) okuyamba okukima ggoonya zonna eziri mu kitundu kyabwe.
Abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebbe w’ekyalo Abbas Waigonda, bagamba nti sabiti ewedde ku Lwokuna, ggoonya yakwata mutuuze munaabwe Matia Musisi 55, era yazuulibwa kumakya ku lunnaku Olwomukaaga nga yamulidde ebitundu ebimu, oluvanyuma lw’okumunoonya okumala ennaku ebbiri (2).
Ssentebbe Waigonda agamba nti abajaasi abalwanyisa envuba embi okusanyawo maato gaabwe ag’enkasi, y’emu ku nsonga lwaki balemeddwa okutaasa mutuuze munaabwe Musisi era ggoonya yamututte nga balaba wakati mu kulaajana.
Wafiiridde abadde mulimi oluvanyuma lw’okusuulawo omulimu gw’okuvuba olw’ebikwekweto by’amagye okweyongera ku nnyanja okulwanyisa envuba embi.