MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite abikudde ekyama nti omusajja yekka ali mu birowoozo bye ye Allan Kajik era talina ntekateeka yonna yakuwako musajja mulala vuvuzera.

Minisita Anite agamba nti ebigambo byogerwa nti talina abasajja abalala mu Kampala kyokka yewuunya kuba mu nsi yonna, bba Kajik ye musajja yekka ategeera omukwano, musajja mulungi ate alina amagezi.

Minisita Anite ne bba Kajik
Minisita Anite ne bba Kajik

Mungeri y’emu agambye nti naye alina ebifaananyi by’obuseegu ne bba Kajik era ye musajja yekka alina olukusa okulaba ku bwereere bwe kuba yamuteekako empeta.

Minisita Anite era agambye nti Kajik okumuteekako empeta, kabonero akalaga nti alina kwebaka naye ng’ali bwereere.