Owa bodaboda atugiddwa era omulambo gwe gusangiddwa nga gusuuliddwa ebbali w’ekkubo ku luguudo oluva e Kakumiro okudda e Mubende.
Attiddwa ategerekese nga Julius Ssebaduka myaka 20 abadde omutuuze ku kyalo Kanyawa cell mu tawuni kanso y’e Kakumiro mu Disitulikiti y’e Kakumiro.
Okusinzira ku batuuze ne mikwano gy’omugenzi, Ssebaduka yapangisiddwa abantu abatamanyikiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, okubatwala mu kifo kye batategedde.
Ssebaduka olw’attiddwa mu bukambwe, bodaboda ye ekika kya Bajaj boxer namba UEW 226L yatwaliddwa era omulambo, gugiddwawo Poliisi ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro Kakumiro okwekebejjebwa.
Addumira Poliisi mu Disitulikiti y’e Kakumiro Najibu Waiswa agumizza abantu ku nsonga y’ebyokwerinda era agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza.