Poliisi y’e Rakai ekutte omukyala ku by’okutta omwana we, myezi 6 gyokka egy’obukulu.

Omukyala akwattiddwa, mutuuze ku kyalo Kiruli mu ggombolola y’e Kifamba mu disitulikiti y’e Rakai era kigambibwa nti yamutuze okutuusa lwe yafudde.

Okusinzira ku Joseph Kayemba omu ku batuuze mu kitundu ekyo, omukyala ne bba baludde nga balina obutakaanya era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki yasse omwana, okusobola okulumya bba.

Ate abamu ku batuuze bagamba nti omukyala mulwadde wa mutwe erakiteberezebwa y’emu ku nsonga lwaki yasse omwana we.

Wabula adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Rakai Ben Nuwamanya, agambye nti omukyala akwattiddwa era basawo balina okumwekebejja obwongo okuzuula oba mulwadde wa mutwe n’okunoonyereza lwaki  yasse omwana we.