Omuyimbi Rema Namakula agamba nti mu kiseera kino bangi ku bannayuganda bakyebuuza oba kituufu yasuddewo Eddy Kenzo ku lwa Dr. Hamzah Ssebunya.

Rema agamba nti tewali kubusabuusa kwonna nga 14, November, 2019, alina okwanjula bba Dr. Ssebunya mu bazadde era enteekateeka ziri mu ggiya.

Olunnaku olw’eggulo, Rema yabadde alina olukiiko lw’emikolo ku wooteeri ya Kenron e Mmengo okumpi n’Olubiri.

Kigambibwa ku mukolo, betaaga abagenyi 500, aba Rema 300, 150 okuva ku ludda lw’omusajja Dr. Ssebunya ate 50 abanaakola ku nteekateeka z’omukolo e Nabbingo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Rema agamba nti enkiiko z’okwanjula okugenda mu maaso, kabonero akalaga nti emikolo girina okubaayo era abantu balina kulinda lunnaku kuba buli kimu kitambula bulungi nnyo.

Rema wakati mu ssanyu, alaze lwaki Dr Ssebunya asinga nnyo Kenzo mu bintu eby’enjawulo kuba asobodde okutuukiriza ekirooto kye, okukiriza okugenda mu bazadde.

Okusinzira ku mikwano gya Rema, Kenzo musajja alina ssente kyokka abadde asukkiridde okulimbalimba mukyala we Rema nti essaawa yonna agenda kumukuba embaga kyokka nga tewali kyakolawo.

Mungeri y’emu bagambye nti Kenzo tabadde siriyasi ku Rema era abadde alina okunoonya omusajja omulala ategeera kye bayita laavu.