Omuyimbi Lydia Jazmine omu ku bakyala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba, alaze nti ategeera kye bayita okwambala obulungi kuba mu kiseera kino y’omu ku basereebu abogerwako mu ggwanga.
Jazmine abadde nnyo mu mawulire ku bigambibwa nti y’omu kwabo ababadde bavuganya ne Rema Namakula ku waaya ya Eddy Kenzo.
Mu kiseera nga Kenzo ali mu maziga olwa kabite we Rema okumulekawo, wabula Jazmine alaze nti y’omu ku bawala abato, abalina omubiri omulungi, buli musajja yenna ayagala omukyala alabika obulungi, gwasobola okulowozaako.

Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo ekifaananyi ng’ali mu lugoye lw’obutuli era abamu ku bawagizi be bagambye nti ayambadde mu ngeri egamba nti, “jjangu ‘daddy’ ondabe Rema yakusuddewo nkuwummuze”.
