Pasita Martin Ssempa awagidde eky’omuyimbi Rema Namakula okufuna omusajja omulala Dr Hamza Ssebunya.
Pasita Ssempa agamba nti Eddy Kenzo abadde alemeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwa maka era Rema abadde alina okunoonya omusajja ali siriyasi mu bya laavu.

Agamba nti Kenzo yamanyika nnyo mu nsi yonna olw’okuyimba oluyimba ‘Sitamina’ kyokka ye abadde alemeddwa okulaga omukyala nti musajja alina sitamina mu bintu by’omukwano.
Pasita Ssempa agamba nti mu kiseera kino Kenzo alina okwekuba mu kifuba n’okudda eri omutonzi ssaako ne Rema kuba yekka yasobola okukwasaganya ensonga zaabwe.