Ssenkulu wa Gagamel Bebe Cool akakasizza nti yagoba okusaba kw’omuyimbi Spice Diana okumuwa kolabo y’oluyimba.
Bebe Cool agamba nti Spice Diana yali akyali mwana muto mu kisaawe ky’okuyimba ng’alina okukola ennyo okufuna erinnya okusobola okukola kolabo naye, “I told her to first work hard and reach a certain level on the music charts then we can work“.
Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera kino Spice Diana asemberedde okukula mu by’okuyimba era essaawa yonna ayinza okumuwa kolabo.
Spice Diana alina kolabo z’ennyimba n’abayimbi ab’enjawulo omuli Omusheshe – Spice Diana ne Ray G, Best Friend – Spice Diana ne King Saha, Thirty Two (32) – Spice Diana ne Weasel n’abalala.
Wabula abamu ku bannayuganda bagamba nti ebigambo bya Bebe Cool bigendereddwamu kuswaza Spice Diana n’abayimbi abalala.