Nga mu kiseera kino omuyimbi Rema Namakula ali kuteekateeka mikolo okwanjula bba Dr. Hamza Ssebunya mu bazadde, nate waliwo ebigambo ebyogerwa nti Rema ali lubuto.
Wabula Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano avuddeyo ku nsonga eyo, okulambika ku byogerwa.
Ssenga Kawomera agamba nti Rema ng’omukyala omulala yenna okufuna olubuto, tekyewunyisa kuba mukyala muzadde, mukulu era alina omwana gwe yazaala mu Kenzo.
Bw’aba ali lubuto lwa Hamza, “kiraga nti ye ne Hamza baludde nga bali mu laavu era kabonero akalaga nti abadde ayenda ku Kenzo emyaka egiwerako“.
Mungeri y’emu Ssenga agamba nti, “mu kiseera kino Hamza alina okwegendereza kuba kisoboka Rema okumusiba olubuto lwa Kenzo kuba abadde mukyala mufumbo eri omusajja omulala“.
Ssenga Kawomera era agamba nti, ” Kenzo okulemwa okuwa Rema obudde, tomunenya kuba muwala muto, obulamu bubanja ate ffe abakyala tulina okuzaala ku myaka emito era eyinza okuba emu ku nsonga lwaki Rema yafunye omusajja ali siriyasi era omwetegefu okumuwa obudde“.
Okusinzira ku ntekateeka, Rema wakwanjula Hamza mu bazadde nga 14, November, 2019.