Kyaddaki amaggye galambuludde ku kyavuddeko ebitongole ebikuuma ddembe okuddamu okukwata, abantu 4 abayimbuddwa kkooti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, abali ku misango gy’okwenyigira mu kutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.
Olunnaku olw’eggulo, kkooti ewozesa emisango gi kalintalo, yayimbudde abantu 4 okuli Yusuf Nyanzi, Jibril Kalyango, Joshua Kyambadde ne Yusuf Mugerwa oluvanyuma lw’omulamuzi Lydia Mugambe okubakiriza okweyimirirwa era okubayimbula kwakulembeddwamu omuwandiisi wa kkooti eyo, Esther Nasambu.
Wabula olwayimbuddwa, bazzeemu okukwattibwa wakati mu kusika omuguwa era emmundu zaavuddeyo ku mulyango oguyingira mu kkooti, ng’abasajja nga bali mu ngoye eza buliggyo n’abali mu kyambalo ky’amaggye nga bakutte emmundu era basobodde okweyambisa amaannyi, abavunaanibwa aba 4 okuddamu okwattibwa.
Olwakwatiddwa, bonna baateekeddwa mu mmotoka y’ebyokwerinda ekika kya ‘Super Custom’ ne batwalibwa ne munnateeka waabwe James Mubiru yakwattiddwa.
Abantu 4 abakwattiddwa, batwaliddwa mu kifo ekitamanyiddwa ate munnamateeka Mubiru yatwaliddwa ku Poliisi ya Jinja Road ku misango gy’okulemesa okuteeka mu nkola amateeka.
Wabula omwogezi w’ekitongole eky’amaggye mu ggwanga Brigadier Richard Karemire agambye nti bannayuganda betaaga eddembe lyabwe era balina okola kyonna ekisoboka, okutangira abantu abalina ekigendererwa eky’okutabangula eddembe era y’emu ku nsonga lwaki abayimbuddwa ku by’okutta Kaweesi bazzeemu okukwattibwa.
Kaweesi yattibwa nga 13, Ogwokusatu, 2017 n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne ddereeva we Godfrey Mambewa nga bonna bakubwa amasasi agabattirawo e Kulambiro okumpi n’amakaage.