Bya Zainab Ali ne Kyeyune Steven

Ababaka ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu mu palamenti bakiguddeko, bakonkomalidde ku bikomera by’amayumba bwe bagenze okulambula ‘Safe House’ ezigambibwa okuba mu ggwanga mu bitundu bya Kampala n’emirirwano, wakuumirwa abantu ne batulugunyizibwa ku nsomnga ez’enjawulo.

Ssentebe w'akakiiko Jennifer Nantume
Ssentebe w’akakiiko Jennifer Nantume

Ababaka nga bakulembeddwamu Ssentebe w’akakiiko era Omubaka omukyala ow’e Buvuma Jennifer Nantume, bagamba okulambula kivudde ku bantu abakaaba nti abasirikale basukkiridde okubatulugunya ng’abasinzira mu Safe Houses era bageenze mu bifo bisatu (3) okuli Kyengera mu zooni ya Nkokonjeru B, Nalukolongo ne Nakasero ku kitebe kya ISO sabiti eno ku Lwokubiri nga bawerekeddwako bannamawulire wabula ebifo byonna tebakkiriziddwa kuyingira munda.


Ssentebbe Nantume yabadde n’ababaka abalala abatuula ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu okuli Latif Ssebagala (Kawempe North), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine (Kyaddondo East), Veronica Nannyondo (omubaka omukazi ow’e Bukomansimbi),Francis Zaake (Mityana) n’ababaka abalala.
Ababaka olwatuuse e Kyengera mu Kampala okumpi ne fakitole ya SESACCO baayogedde n’omusajja eyabeeyanjulidde nga Vincent Kalibbala ng’ali mu kyambalo ky’amaggye era mbu akulira ekifo ataabaganyizza kuyingira munda.


Kalibbala yawadde ababaka amagezi okugenda ku kitebe kya ISO e Nakasero okufuna olukusa wadde ssentebbe w’akakiiko Nantume yasobodde okutegeeza Kalibbala nti balina obuyinza okulambula ekifo kyonna obudde bwonna wadde tebalina lukusa wabula Kalibbala yalemeddeko era bonna yabalemesezza okuyingira.
Ennyumba y’e Kyengera yefaananyirizaako amaka g’omuntu wa buligyo kuba mmunda mulimu emmotoka ezipakinze wansi w’ekisikirize ky’abazungu akali mu langi y’e kiragala era kuliko ggeeti mu langi enzirugavu ate ekikomera kyonna kuliko kkamera enkesi.

Ababaka bonna olwavudde e Kyengera nga bagaaniddwa okuyingira, baagenze butereevu e Nalukolongo era waasangiddwaawo abaserikale basatu nga babiri (2) abali mu by’ambalo bya LDU n’ow’amagye omu (1) era basabye ababaka okugenda ku Poliisi y’e Nateete okufuna olukusa okuva ewa MaJ. Sulaiti, ssentebbe w’akakiiko Nantume n’abakaka kye baagaanye okukola.


E Nalukolongo, ekizimbe munda kya kalina era waliwo olugendo okuva ku ggeeti. Ggeeti eri mu dizayini za bituli era esobola bulungi nnyo okulengere kalina kyokka waliwo akagendo okuva ku kkubo.


Olwavudde e Nalukolongo, okulambula kwabwe baakufundiikiridde Nakasero ku kitebe kya ISO okumpi ne Imperial Royal Hotel era abakuumi baabalemesezza okuyingira era waabaddewo okuwanyisiganya ebigambo n’okwenyoola okumala eddakiika ezisukka 30 era baalemeddwa okukaanya.
Oluvanyuma omusirikale ng’ali mu kyambalo ky’amaggye okuli erinnya erya Kitala yazze ku mulyango n’asaba ssentebbe w’akakiiko yekka Nantume okuyingira munda wabula ababaka abali kakiiko nga bakulembeddwamu Latif Ssebagala baamugaanye okuyingira yekka kuba buli kimu balina kukikola ng’akakiiko.


Mu Safe House y’e Nakasero, ggeeti ya ‘Grey’ ng’etunudde mu maaso ga Barclays Bank kyokka ne bodaboda eziyita ku luguudo tezikirizibwa kuyimirira mu kifo ekyo.
Ekifo kikuumwa butiribiri abasirikale mu kitongole ky’amaggye nga bonna bakutte emmundu n’okwambala ekyambalo ky’amaggye.

Kinnajukirwa nti Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga yalagira akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Palamenti okunoonyereza ku bigambibwa nti mu Uganda mulimu Safe House, ebitongole ebikuuma ddembe gye bitwala bannayuganda abakwattiddwa ku nsonga ez’enjawulo ne batulugunyizibwa mu ngeri etagambika okubakaka okukiriza emisango gye batazza.

Ate Minisita w’Obutebenkevu Gen. Elly Tumwine bwe yali mu Palamenti mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu sabiti ewedde nga 4, September, 2019, yakkirizza nti mu Uganda mulimu Safe Houses era bazeeyambisa ku by’okwerinda by’eggwanga n’okukuumirayo abantu abamu abetaaga obukuumi mu ngeri ey’enjawulo.
Gen. Tumwine yategeeza nti wadde ababaka ba Palamenti balina eddembe okulambula ebifo eby’enjawulo, tewali n’omu alina lukusa okulambula ebifo byakwerinda era okugenda okulambula Safe Houses balina okukigya mu birowoozo byabwe kuba tebajja kubakiriza.