Kyaddaki munnamateeka wa Dr. Hamza Ssebunya bba w’omuyimbi Rema Namakula avuddeyo ku by’okutwala omuntu we eri akakiiko akagatta abasawo.

Kinnajjukirwa nti ku ntandikwa ya sabiti eno, omuntu eyeesise Sharif Ssentongo Nambale yatuukiridde munnamateeka ayitibwa Erias Luyimbaazi Nalukoola n’amuwa ebiragiro okuwandiikira akakiiko akafuga abasawo okunoonyereza ku Dr. Sebunya ku bigambibwa nti okwagalana ne Rema, yali agenzeeyo kumujjanjaba ekintu ekikontana n’amateeka agafuga omulimu gw’abasawo mu ggwanga lino Uganda.

Okusinzira ku mateeka agafuga abasawo mu ggwanga, omusawo yenna takkirizibwa kukozesa mulimu gwe kuganza mulwadde yenna.

Ku nsonga eyo, munnamateeka wa Dr. Ssebunya, Ukasha Ssekajja okuva mu Kampuni ya Kibuuka Musoke and Company bw’abadde awayamu naffe ku lukomo lw’essimu agambye nti, “okuwa bannamateeka ba Dr Ssebunya ebbaluwa, kitegeeza nti omuntu waffe (Ssebunya) agifunye, wabula omusango  ogumuvunaanibwa nti yaganza omulwadde we gwe yali ajjanjaba Rema oyo katemba kuba teguliiyo wabula waliwo abantu abalina ekigendererwa ky’okutatana erinnya ly’omuntu waffe Ssebunya kyokka balina okweddako mu bwangu“.

Ukasha era agamba nti “omusajja eyeeyise Ssentongo okuwaaba eri akakiiko akagatta abasawo anoonya mawulire kuba talina bukakafu bulaga nti Rema yali mulwadde wa Dr Ssebunya wabula Ssentongo musajja mukulu alina eddembe okwemulugunya kyokka alina okukimanya nti Rema ne Ssebunya buli omu alina eddembe okwagala omuntu ali ku mutima gwe“.

Ku nsonga za Rema okwanjula Dr Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019, Munnamateeka Ukasha agamba nti, “wadde okunoonyereza kugenda mu maaso, enteekateeka z’omukolo zigenda mu maaso era tewali muntu yenna ayinza kuziyimiriza”.